The 10th Annual Summit of the African Green Revolution Forum (AGRF), will be held virtually from 8-11 September 2020 and will be co-hosted by the Government of Rwanda and the AGRF Partners Group. The AGRF is considered the world’s leading forum for African agriculture, bringing together stakeholders in the agricultural landscape to take practical actions and share lessons that will move African agriculture forward.

Background

This year’s Summit comes at an unprecedented time when major African cities, especially those that rely mainly on imported food, face a looming hunger crisis following implementation of lockdowns in several countries to contain the spread of COVID-19. The theme of the summit, Feed the Cities, Grow the Continent: Leveraging Urban Food Markets to Achieve Sustainable Food Systems in Africa, is a call to action to rethink food systems to deliver resilient, better nourished, and more prosperous outcomes for all.

Opportunities for SMEs through the Agribusiness Deal Room

One of the key events at the AGRF is the Agribusiness Deal Room, a matchmaking session whose objective is to drive new business deals and commitments by providing companies in the agriculture and agribusiness sectors with information on access to finance, mentorship, and market entry solutions to support their growth objectives. The Agribusiness Deal Room aspires to be the prime platform to drive deal origination and access to finance for a pool of critical agribusiness and SMEs in the coming years. It also creates opportunities for governments to present investment opportunities, promote investment incentives and engage with interested investors.

Alliance for a Green Revolution in Africa (AGRA) has partnered with Uganda Investment Authority (UIA) to pitch investment opportunities from Uganda’s agricultural sector during this year’s Agribusiness Deal Room. These opportunities will be made available in partnership with the Ministry of Trade, Industry and Cooperatives (MTIC), Commercial Agriculture for Smallholders and Agribusiness (CASA), Uganda Agribusiness Alliance (UAA), Uganda Export Promotion Board (UEPB), Uganda Development Bank Ltd (UDBL), aBi Development and USAID.

The Uganda Country Deal Room Session will take place virtually on Wednesday, 9th September at 11:00am (Central African Time). This will be a one-hour session during which the country delegation will have the opportunity to showcase opportunities to a wide range of potential investors, development partners, bi-lateral donors amongst other stakeholders. To register please click the link below https://agrf.missingsecond.com/Home/Register. If you are an entrepreneur looking for investors, please email dealroom@agra.org to receive the submission template.

Outcome of the Dealroom at the 2019 AGRF Forum

The 2019 forum hosted 117 African enterprises (40% women-owned) seeking around $800m in  investments and matched enterprises with over 40 investors and financial institutions through 350 scheduled meetings. Sixteen governments presented investment opportunities totaling $2billion and Grow Africa term sheets totaling $200m were signed for investments in Malawi, Nigeria, Uganda, Eswatini and Ivory Coast.

Contact Details:

For further information, kindly get in touch with Lilian Githinji on lgithinji@agra.org Tel: +256 783 323328 or Peter Mulira on pmulira@ugandainvest.go.ug  Tel: +256 788 421421

Alliance for Green Revolution in Africa (AGRA)

Uganda Country Office,

Plot 42, Princess Anne Drive, Bugolobi, Kampala.

Tel: +256 392 264980/1

Website: https://agra.org/focus-countries-old/uganda/

Emikisa egirindiridde amakolero n’eby’obusuubuzi ebitonotono (SMEs) mu lukungaana lwa African Green Revolution Forum (AGRF) olwa buli mwaka okuva nga 8 – 11 Mutunda (September) , 2020.  

Olukungaana lwa African Green Revolution Forum (AGRF) – kino kitongole ekitakabanira okutumbula n’okukulaakulanya eby’obulimi mu Africa olw’omulundi ogw’ekkumi lugenda kubaawo okuva nga 8 okutuuka nga 11 omwezi gwa Mutunda (September) 2020 era nga lugenda kutegekebwa Gavumenti ya Rwanda ng’ekolaganira wamu ne banna kibiina abalala (AGRF Partners Group)

Mu nsi yonna, AGRF etwalibwa okubeera nga y’ekwatidde eby’obulimi bya Africa omumuli, ng’eyita mu kukwataganya abenyigira mu by’obulimi okusobola okubaako ne kye bakola nga kw’otadde n’okuyigira ku bannaabwe kisobozese eby’obulimi mu Africa okugenda mu maaso.

Ebikwata ku lukungaana luno 

Olukungaana lw’omwaka guno lujjidde mu kaseera akazibuzibu ng’ebibuga ebisinga obukulu mu Africa; naddala ebyo ebyesigama ennyo ku mmere eggyibwa mu mawanga ag’ebweru bitawaanyizibwa ebbula ly’emmere olw’omuggalo ogwassibwa mu mawanga agasinga obungi okusobola okuziyiza okusaasanyizibwa kw’ekirwadde kya ssennyiga omukambwe- Covid -19.

Omulamwa gw’olukungana olw’omulundi guno guli nti; Liisa ebibuga, Okuze Ssemazinga: Tutereeze obutale bw’emmere mu bibuga kitusobozese okuteekawo embeera gye tufunamu emmere mu ngeri eyeesigika era eya nnamaddala mu Africa, nabwekityo tusaana okuddamu okwetegereza engeri eby’emmere gye bikwatibwamu olwo   tulyoke tusobole okuyamba buli gwe kikwatako.

Emikisa SMEs gye zirina nga ziyita mu kanyomero ka Agribusiness Deal Room (ADR)

Ekimu ku bintu eby’enkizo ebibeera mu lukungana lwa AGRF ke kanyomero ka Agribusiness Deal Room,   kano kaba kaseera ka nsisinkano eri ebitongole  eby’enyigira mu by’obulimi n’okusuubula ebirime ng’ekigendererwa kwe kubisobozesa okufuna be bakolagana nabo abapya, okubamanyisa engeri gye basobola okufunamu okuyambibwako mu by’ensimbi, okulungamizibwa mu bintu eby’enjawulo wamu n’engeri gye basobola okufunamu obutale okusobola okutuukiriza ebigendererwa byabwe eby’okwekulaakulanya.

Agribusiness Deal Room eruubirira okubeera nga gwe mukutu ogukyasinze okubeera nga ye nsibuko y’okufuna enkolagana empya mu by’obusuubuzi wamu n’okuyambibwako mu by’ensimbi eri abenyigira mu by’obulimi wamu n’obusuubuzi bw’ebirime nga kw’otadde ne SMEs ezisinga obungi mu myaka egijja.

Agribusiness Deal Room nate esobozesa gavumenti ez’enjawulo okwanjula emikisa gye ziba zirina eri ba musiga nsimbi, okuteekawo wamu n’okutumbula ebibasendasenda nga kw’otadde n’okufuna ensisinkano n’abo abandyagadde okusiga ensimbi mu mawanga gaabwe.

Ekitongole ki Allience for a Green Revolution in Africa (AGRA) kyakolaganye n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’okusiga ensimbi mu Uganda ki Uganda Investment Authority (UIA) okusobola okwagazisa n’okulaga ba musiga nsimbi emikisa egiriwo mu kuteeka ssente mu by’obulimi bya Uganda nga bayita mu kanyomero ka Agribusiness Deal Room ak’omwaka guno.

Emikisa gino gigenda kubeera nga giteekebwawo nga bakolaganira wamu ne Minisitule y’eby’obusuubuzi, amakolero wamu n’obwegassi (Ministry of Trade, Industry and Cooperatives – MTIC), ekitongole ki Commercial Agriculture for Smallholders and Agribusiness (CASA) – nga kino kitongole ekikwasaganya abalimi abalima eby’okutunda naye nga balimira ku musingi omutonotono, Uganda Agribusiness Alliance (UAA) – kino kitongole ekigattira awamu abantu abeenyigira mu busuubuzi bw’ebirime, Uganda Export Promotion Board (UEPB) – Kino kitongole ekivunaanyizibwa ku kutumbulu ebintu ebitundibwa ebweru w’eggwanga, Uganda Development Bank Ltd (UDBL) – eno nga ye bbanka evunaanyizibwa ku by’enkulaakulana mu ggwanga, ABI Development wamu ne USAID.

Akanyomero ka Agribusiness Deal Room aka Uganda kajja kubeerawo ku Lw’okusatu nga 9 Mutunda (September) ku ssaawa ttaano ez’okumakya (11:00 am)  era nga kajja kumala obudde bwa ssaawa emu yokka. Mu kiseera kino abakungu okuva mu Uganda bajja kuweebwa omukisa okwanjula emikisa egiriwo okusigwamu ensimbi mu Uganda eri ebikonge eby’enjawulo omuli ba musiga nsimbi, banna byankulaakulana ab’enjawulo,  abagabirizi b’obuyambi n’abalala abagwa mu kkowe eryo.

Ayagala  okwewandiisa, osobola okuyita ku mukutu guno; https://agrf.missingsecond.com/Home/Register.

Bw’oba oli musuubuzi anoonya abakuteekamu ssente, tukusaba oweereza email ku dealroom@agra.org ofune w’oteerayo okusabakwo.

Ebyava mu kanyomero ka Deal Room ak’olukungana lwa AGRF olwa 2019

Olukungana lwa 2019 lwetabwamu ebitongole 117 okuva mu Africa era nga 40% ku bitongole bino byali bya bakyala. Bino byali byetaaga okuteekwamu ssente eziri eyo mu bukadde 800 obwa doola ($800m) era nga byasobola okukwasaganyizibwa ne ba musiga nsimbi abasoba mu makumi ana (40) nga kw’otadde n’ebitongole by’ensimbi eby’enjawulo nga bayita mu nkiiko 350 ezaategekebwa.

Gavumenti kkumi na mukaaga ze zaayanjula emikisa gye zaalina eri ba musiga nsimbi  era nga bino byali bibalirirwamu obuwumbi bwa doola bubiri ($ 2 billion). Bwe zityo ensimbi eziwerera ddala obukadde bwa doola bibiri ($200m) ze zassibwako omukono okubeera nga zisigibwa mu mawanga omwali Malawi, Nigeria, Uganda, Eswatini ne Ivory Coast.

Endagiriro:

Okumanya ebisingawo, tukusaba otuukirirea Lilian Githinji ku lgithinji@agra.org Essimu: +256 783 323328 oba Peter Mulira on pmulira@ugandainvest.go.ug  Essimu: +256 788 421421

Alliance for Green Revolution in Africa (AGRA)

Ofiisi yaabwe mu Uganda;

Plot 42, Princess Anne Drive, Bugolobi, Kampala.

Essimu: +256 392 264980/1

Website: https://agra.org/focus-countries-old/uganda/