Okupima akatyabaga emirimu gyo mwe giri

Ekibiina ekigatta abakozi mu nsi yonna ekya International Labour Organization (ILO) kigunjizzawo enkola y’okwekebera , okuyamba amakolero amatonotono okumanya butya bwe gayimiridde mu kiseera kino ekya ssennyiga omukambwe.

Omukutu gwa Covid 19 Business Info Hub gwateeseteese obukodyo obugenda okukozesebwa mu Uganda.

Ebigendererwa by’enkola eno kwe kuyamba amakolero amatonotono ng’eriryo okusobola okuzuula oba gali mu katyabaga olw’ekirwadde kino. Enkola eno etunuulira ennyingo nnya eziba ez’omugaso ennyo mu nzirukanya y’emirimu ezituumiddwa 4Ps okusinziira ku kibiina kino ekya ILO:

People

Abakozi n’ab’omu maka gaabwe bakoseddwa batya ekirwadde kya senyiga omukambwe?

Processes

Yo engeri gy’oddukanyamu emirimu gyo egya buli lunaku ekoseddwa etya?

Profits

Ate byo eby’enfuna mu mirimu gyo bikoseddwa kyenkana ki?

Partnerships

Byo ebintu n’embeera eyeetoolodde w’okolera ekoseddwa etya ekirwadde kino ekyaa senyiga omukambwe?