Entabiro ya bizinensi mu biseera bino ebya COVID-19 yayogeddeko ne Allan Rwakatungu, owa XENTE okutegeera ngeri ki bizinensi gyeziyinza okukozesa omutimbagano. Twaabuuzizza aba Xente okugabana naffe kungeri bannanyini bizinensi gyebayinza okuteeka emirimu gyaabwe ku mutimbagano.

Kiyambaki bannannyini bizinensi okuteeka byebakola ku mutimbagano mukaseera kano aka COVID-19 era tulage engeri ezilabwaako mwebaynza okuyita okukola kino

Kikulu okuwandiisa bizinensi yo kumutimbagano mu kaseera ka COVID-19. Kirungi okuteeka eby’amaguzi byo ku mutimbagano kubanga abantu naddala ba kasitomaabo tebasobola kujja wotundira okusubula oba tebakyaayagala kukozesa nnyo sente nkalu nga basasula olw’ekirwadde. Tuwa abo bonna abatannatandika amagezi bakirowoozeeko mubwangu ddala.

Mitendera ki egiyitibwaamu okuteeka bizinensi ku mutimbagano?

– Zuula omukutu gyoyagala okukozesa okutundirako eby’amaguzi byo (nga; Jumia, Safe Boda, Xente)

– Omukutu guno gufune oguteeke ku ssimu yo (Xente kweeri ku App store)

– Teekako eby’amaguziibyo

– Tandika okulanga ebyamaguziibyo ku mikutu gya social media

Kati nannyini bintu asasulwa atya?

Emikutu gino gisasula buli week, buli lunaku oba buli mweezi. Ku Xente, tukola kukyookusasula ba kasitoma baffe mangu ddala nga bwekisoboka. Mumaaso awo tujja kuba tugaba n’amabanja okusinziira ku bungi bw’ebintu byatunda basobole okuddayo basuubule.

Tutegeddeko nti amakampuni agasoba mu 600 gamaze okweyunga kumutimbagano, ku Xente kibadde kitya?

Bizinensi nnyingi zikizudde nti okugenda ku mutimbagano kyekiriwo olwa leero. Okugeza ku Xente, tukilabye nti omuwendo gw’amakampuni agewaandiisa gweyongedde. Kino kizzeewo olw’amakampuni amanji agaali gatandise kunteekateeka eno naye negatamaliriza. Twaatandika okulaba nga bajja okutweegattako. Mukiseera kino tugasseeko kampuni 50 ate naabalala bangi bali mu nteekateeka. Tugezaako n’okwoogera ne banywanyi baffe abalala okutuyambako era tukolagana ne innovation village okwanguyaako ku kutendeka abantu.

Twawulirako nti Xente etegeka okuteeka bizinensi ku mutimbagano ku bweereere. Oyinza okututangaaza ku nsonga eno? Bbyo bitambudde bitya kati wano wetuli?

COVID-19 bweyajja, bizinensi nnyingi zaafuna obuzibu era ezo zokka ezaali zikolera kumutimbagano zeezaasobola okusigala nga zikola. Kampuni eziri ku mulamwa gwokugula n’okukozesa ebintu ebikolebwa wano, tuziteekako ku bweereere. Aba innovation village baatweegattako okwanguya enteekateeka eno.

Tuyita mumitendera ki okweegatta ku Xente era omuntu yeewala atya ababbi b’okumitimbagano?

Nga bizinensi, Xente eteeka ebitundibwa ku mutimbagano. Tukola ku bintu ebikalu soosi obuweereza. Tuwayaamu ne bizinensi netuzuula oby’amaguzi byaabwe n’emiwendo olwo netusaba ba nnannyini okweegatta ku Xente. Okusooka, twabikolanga nabantu naye kati ebyuuma byeekola byokka era kati bannannyini bizinensi basobola n’okukyeekolera bokka ku mutimbagano. Ensasula nayo eri kumutimbagano, teri kukwaata ku nsimbi.

Kyeetaagisa sente meka bannannyini bizinensi zebasasula okweegatta ku mutimbano? Mukiseera kino nga bizinensi  ziri mu bizibu, bafunamuuki?

Ebisale by’okukolera bizinensi ku mutimbagano biri wansi nnyo. Mu mawanga amalala, waliwo olukalala lw’ensimbi ezilina okusasulwa okusobola okweeyunga ku mutimbagano naye kino mu Uganda tekinnatuuka. Ku Xente, bannannyini bizinensi tubateerako bweereere. Mubisale byebalina okusasula mulimu, commission ku byotunze, wakati wa (6% ne 20%), sente z’okulanga ku facebook n’emikutu emilala, ku masimu, computer, ne kumutimbagano. Okutendeka abakozi. Nga ojjeeko ebisale bino, okuddukanya emirimu gyo ku mutimbagano, omuntu akozesa sente ebitundu 1/10 kusente zeyandibadde okozesa nga okola bizinensi mungeri eyabulijjo.

Bizinensi entono zeetaaga okulabibwa ku mutimbagano okusobola okufuna bakasitoma. Bannanyini bizinensi, Xente ebawa magezi ki okusobola okutuuka ku kino?

Bannanyini bizinensi balina okweyigiriza ku bikozesebwa ebyeetaagisa. Ekisinga obwangu ye Facebook. Teeka byotunda n’emiwendo gyaabyo ku facebook ne ku whatsapp. Bino osobola okubiteeka ku status yo, emikutu nga Xente, Jumia, ne Safe boda najo milungi mukulanga. Oyinza obuteetaaga website nga otandika. Nzikiririza mukutandika akatono naye nga katambula.

Kati bizinensi zino entono zifuna zitya obuyambi bwammwe?

Ku email sellers@xente.co ne ku website yaffe www.xente.co.sellers . ku maka gaffe waliwo ffoomu kweweewaandiisiza okutandika enteekateeka y’okweeyunga ku mukutu. Tuli app yabagula ne app endala eyabatunda zetukolako era zijja kuba ziwedde mu sabbiiti ntono.

How can Xente help entrepreneurs take their businesses online during COVID-19?

The COVID-19 Business Info Hub spoke with Allan Rwakatungu, Partner at Xente, to understand how businesses can digitalize.

How important is it for business owners to take their businesses online during COVID-19 and what are some practical ways to do that?

It’s important to register your business online especially during COVID-19; it’s so much easier and more convenient to trade or transact online as the majority of customers cannot come to you to buy and may not use cash for payment during this pandemic. We advise those that have not thought about it to start immediately.

What is the process for taking a business online?

– Identify the digital platform you want to use to sell your product (e.g., Jumia, Safe Boda, Xente)

– Download the appropriate app (Xente is available on the App store)

– Upload your products and prices

– Market your products using social media platforms

How do business owners get paid?

Platforms pay weekly, daily or monthly. At Xente we are working on paying our customers as quickly as we can, and in the future, we shall be providing credit to people depending on their sales volume for them to buy inventory.

We have heard that over 600 companies have gone online during COVID-19. What has Xente’s experience been?

Most businesses realized that going online is a necessity for today; for example, at Xente, we realized a rise in the number of companies registering. This increase came mainly from those with whom we had already initiated the process but who had not yet completed it; we saw them coming back on board. During this period, we have added 50 businesses and now have a large pipeline. We are reaching out to partners for help and are working with the Innovation Village to quicken the process of on-boarding, training, etc.

We heard that Xente is planning to offer free digitizing services to businesses. Can you tell us about that? What has Xente’s experience been so far with this?

When COVID-19 started, many businesses went into difficulty, and only businesses operating online would survive. For companies that are “Buy Uganda Build Uganda” we are on-boarding them for free. Innovation Village joined us to quicken the digitization process.

What is the process of onboarding onto Xente and what concerns are there around cyber security?

As a business, Xente digitizes a business’ sales. We consider tangible products and not services. We have a discussion with businesses and identify their products and prices and talk to business owners to onboard them onto Xente. Previously, the process was a bit manual, but now we are automating it such that business owners can even do it themselves online. We also digitize the payments, so there is no physical cash handling.

What are some of the costs business owners can expect with starting e-Commerce activities? At this time, when businesses are already facing difficulties, what are the benefits?

The direct costs of e-commerce are actually low. In other countries, there is a listing fee for onboarding, but this is not the case in Uganda yet. At Xente, we onboard business owners for free.

Costs include commissions on sales to the digital platform / service provider (usually 6% to 20% of sales), marketing costs from digital advertising on Facebook and other channels, phone, computer, and internet, and training of staff on order fulfillment. Despite these costs, operating online, an entrepreneur incurs one-tenth of the cost one would incur while operating a normal business.

SMEs need visibility online to generate leads. How does Xente advise entrepreneurs to achieve this?

Entrepreneurs should educate themselves on the tools that are out there. The most basic tool is Facebook, so list products and prices on Facebook and WhatsApp. This can be done under “Status.” Platforms like Xente, Jumia, and Safe Boda are also useful for promotion. Businesses may not need a separate website at the start. I believe in starting small and in the most effective way.

How can SMEs contact Xente for support?

SMEs can reach Xente via email at sellers@xente.co and via the web at www.xente.co/sellers. On the site, there is a registration form that business owners can fill out to start the onboarding process. We have a consumer app and a seller app that are in development and will be out in a few weeks.