Uganda, bizinsensi entonotono (SME) zikwaata ekifo kya ku mwanjo nnyo mu by’enfuna, obuyiiya n’okutondawo obugagga.
- Anne Juuko
Akulira Stanbic Bank Uganda

Okutumbula bizinensi za Uganda entonotono – olufungo lw’enkulakulana

Obubaka bwa Anne Juuko – Akulira Stanbic Bank Uganda

Mu mirimu gyonna ejikolebwa mu Uganda, bizinsensi entonotono (SME) zikwaata ekifo kya ku mwanjo nnyo mu by’enfuna, obuyiiya n’okutondawo obugagga. Mu alipoota ezikoleddwa ekitongole ekifuga ba musiga nsimbi ki Uganda Investment Authority, bizinensi ez’ekika kino zikola ebitundu 49 mu mirimu egy’obuweereza, ebitundu 33% mu by’obusuubuzi, ebitundu 10% mumakolero n’ebitundu 8% mu mirimu emilala

Ekyeewuunyisa ate nga kituufu kiri nti abantu abasukka mu bukadde bubiri n’ekitundu beebakola emirimu egy’enjawulo mu bizinensi ez’ekika kino. Bano bakola ebitundu 90% mu mirimu egy’obwannanyini, abakola ebintu ebikolebwa mu makolero ebisukka mu bitundu 80% nga bino bikola ebyongera 20% ku by’enfuna by’eggwanga lyonna. Naye wadde nga kino kiri bweekiti, emirimu gy’ekika kino jilina obuzibu mu by’ensimbi, amagezi ag’ekikugu, okukuuma ebiwandiiko, enzirukanya y’emirimu etali ya mulembe, obusobozi obutono okubasobozesa okukuuma amateeka n’obukwakkulizo bw’endagaano z’emirimu, n’okuvuganya okwamanyi wano ate n’ebweeru weggwanga.

Byonna ebyo biviiriddeko bizinensi zino okugwa amangu ddala nga zaakatandika oba ezo eziba ziwonye okusigala nga ziddukanyizibwa mungeri ey’ekiboggwe era ngatezikula. Bweetyo nno Stanbic Bank kyeeva yasalawo mubugenderevu essira okulissa mukuyamba bizinensi ez’eekika kino. Twoongedde okutema empenda nga tuyita mu banywanyi baffe okuyamba bizinensi zino okukula ate ziwangaale.

Obuyambi bwa Stanbic mu kaseera kano aka covid-19

Mukiseera kino ensi yonna eyita mu kiseera ekizibu naddala munsonga za bizinensi era nga tewari amanyi kiddako. Nga ekitongole ky’eby’ensimbi ekiri kuntabiro y’eby’enfuna, embeera eno tujiwulira era tumanyi bulungi obulabe bweekoze mubulamu bwammwe obwabulijjo ne munzirukanya y’emirimu. Awo nno tulina essanyu okuba nti tuli kitundu ku ntabiro y’amawulire agakwaata ku bizinensi mu biseera bya covid-19 , ekifo wojja okusanga amawulire gonna agakwaata  kungeri gyosobola okwanganga mu okusoomoozebwa kuno era eno yengeri Stanbic Bank gyegenda okkuyambamu mukaseera kano

Okwongerayo ebbanga bizinensi zino mwezirina okusasuliramu looni
Stanbic etaddewo akalembereza nga kawanvuko ku looni za bizinensi neza ssekinnoomu kibasobozese okuyita mu katyaabaga k’eby’enfuna akavudde ku kirwadde kya covid-19. Tusaba ba kasitoma baffe bonna nga ennyingiza yaabwe ekoseddwa olw’ekilwadde kino basabe ebbanga mwebalina okusasuliramu looni zaabwe lyongezebweeyo okutuuka ku bbanga lya nnaku 90 okusinziira ku mbeera nga bwebanyize. Tusaba ba kasitoma baffe okutuukirira ba business banker, relationship managers oba customer care center yaffe.

Eky’okuddamu kyaffe mu bya bizinensi ne Bank kiyiiyiziddwa okuja mu bweetaavu bwa bizinensi entonotono mu Uganda. Tukutte olugendo lwokugaziya enkola yaffe nga bwetuzimba Bank ey’omulembe gwa tekinologiya egenda okuyamba mmwe ba kasitoma baffe aba bizinensi entonotono. Enterprise Banking eyogera eri ebizibu byennyini n’ebiluubirirwa by aba kasitoma baffe okukula okusinga kukuyitibwa bizinensi entonotono

Obuyambi bwa Stanbic munkulakulana ya bizinensi entonotono.

Nga eggwanga, Uganda tesobola kukula nga bizinensi zino teziyambiddwa kukula eyo y’ensonga lwaaki tukitwaala nga kikulu okuziyamba ku Stanbic Bank. Stanbic yatandikawo ejjalurizo lya bizinensi mu 2018 nekigendererwa ky’okutendeka, n’okutumbula amagezi ag’ekikugu mukukulakulanya bizinensi ez’ekika kino. Okutendekebwa kwa bweereere nga n’ekisinga obukulu tolina kuba kasitoma wa Stanbic Bank okukweetabamu. Entekateka eno tujigaziiyizza era netuggulawo amaalurizo amalala mu Hoima, Mbarara ne Gulu okusobozesa n’abantu abali mubitundu ebyo okufuna omukisa guno.gunno

Stanbic n’enkola y’omutimbagano
Stanbic erina enkola ey’omulembe eri ba nannyini bizinensi okukole’mirimu gyaabwe ku byuuma bikali magezi era abakozi baffe babeerawo okubaweereza ku ssimu ne email buli lwekisoboka

Ba kasitoma ba bizinensi entonotono:
Enterprise Online: Osobola okunyumirwa empeereza eno ey’obweereere okuddukanya eby’eetaago bya bizinensi byo byonna wonna wooli. Okumanya ebisingawo tutuukirire ku enterprisedirectug@stanbic.com

Enterprise Direct: Bano bbo baddamu masimu. Bakubire oyogere ne business banker kunsonga yonna ekwaatagana ne bizinensi yo. MTN- 0312 222 660 or Airtel -0200 546 600 or UTL-0417 266 600.
Tweeyama okusigala nga tuyamba ba kasitoma baffe mu kaseera kano. Fenna wamu tufube okulaba nga tweekuuma nga tuli balamu era tujja kkola kyonna ekisoboka okulaba nga bizinensi yo eyitimuka mukaseera kano n’emubiseera ebijja mmaaso

 

Mweebale nnyo

Anne Juuko

Chief Executive, Stanbic Bank Uganda.