Ekitongole ki PSFU kikunze kitya ba memba baakyo ne gavumenti okuyamba bizinensi okuyita mu katyaabaga kano aka covid-19?

Entabiro y’amawulire agakwaata ku  bizinensi mu biseera bya covid-19 yayogeddeko ne Francis Kaisirinya, Executive Director wa Private Sector Foundation Uganda kungeri PSFU gyekwataganye ne ba membe baayo kko ne gavumenti okuyamba bizinensi mukaseera kano akaakatyaabaga jka corona

Omulimu gwaffe nga PSFU okuyamba bizinsensi kwa mirundi esatu. Ekisooka, okukiikirira ba memba baffe nga tuteesa ne gavumkenti, eky’okubiri, okuzimba nokuyamba bizinensi okubeera ennungi, n’eky’okusatu, okunoonya ensimbi okwannganga okusoomooza kwezifuna.

Nteekateeka ki PSFU zeekolako okuyamba bizinensi entonotono okuyita mu kaseera kano aka covid-19?

PSFU egenda mmaaso n’okuteesa ne gavumenti ku nsonga ezikwaata kuba nekolera jange omuli okulaba nti gavumenti esasula mangu abajiguza ebyamaguzi, okuyamba ebitongole by’ensimbi okukkakkanya ebyeetaago by’okusasula looni, okuyamba bizinensi okuba ne ssente nokufuna amabanja agataliiko bukwakkulizo bungi n’okussa essira ku nsonga ezikulaakukanya bizinensi. Ebiteeso byetwaawa gavumenti yatandika obikkiriza era PSFU essubira nti n’ebilala ebinaayongerwaako bijja kuteekebwa munkola

PSFU EYAMBA ETYA BIZINENSI OBUTEREEVU?

Kyeeraga mu lwaatu nti bannanyini bizinensi balina okwettanira enkola y’omutimbagano. Nga tusinziira kunzirukana y’emirimu, PSFU eteesa ebintu ebiyinza okutumbula enkola eno nokuba nti weri mubujjuvu ate esoboka okweetooloola eggwanga lyonna. Ku ludda lwa banannyini bizinensi, PSFU, eyamba mukulanga n’okutendeka abakozi amagezi ag’ekikugu nga bakola emirimu gyaabwe. Obusuubuzi mu bizinsensi zino bweetaaga mu enkola ey’omutimbagano. Makampuni agaagala okweetaba mukutendekebwa kuno gasaba gaanukule nga omulanga gwa PSFU bweguba guzze

Bizinensi zisobola kkolagana zitya ne PSFU?

PSFU esangibwa ku Plot 43 Nakasero Road Kampala

Tukubire ku: +256312263850

Email: klmusoke@psfuganda.org.ug